Amawulire
Aba DP bandizira okulonda
Ab’ekibiina kya DP bakutuula omwezi ogujja okusalawo oba beetaba mu kulonda kwa 2016 oba nedda.
Kiddiridde bano okuviiramu awo e Busia nga bagamba nti okulonda kwalimu emivuyo
SSabawandiisi wa DP Mathis Nsubuga agamba nti ebintu nga bwebiyimiridde kiraga bulungi nti pulezidenti ne gavumenti ssibetegefu kutereeza mu bya kulonda nga y’ensonga lwaki okwetaba mu kulonda kiyinza obutakola makulu.
Abavuganya n’ebibiina by’obwa nakyeewa baludde nga basaba ennongosereza mu mateeka g’ebyokulonga omuli akakiiko aketongodde,okutereeza olukalala lw’abalonzi n’okusaawo ekisaawe ekirambulukufu n’okujjawo enkizo eri pulezidenti ali mu ntebe