Amawulire
Aba DP basabye gavt ku mbalirira y’eggwanga
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya Democratic Party nenyamivu olwa gavt okulemerwa okuteeka ensimbi mu bintu ebigasa bannuganda mu mbalirira ye ggwanga
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti ebyóbulimi ebiyimirizawo bannauganda abakola ebitundu 80% byaweereddwa ebitundu 2.64%.
Agambye nti kino kikontana ne byatukibwako mu Maputo Declaration 2003 eragira amawanga okuteeka ebitundu 10% kunsimbi eziri mu mbalirira ye ggwanga mu byobulimi.
Opio anyonyodde nti gavt eteeka nyo essira mu byenguudo ne byokwerinda ne ssuulirira ebyóbulimi ebirimu abantu abangi, ekikuumidde bannansi bangi mu bwavu.
Wano wasabidde agavt okwekuba mu kifuba erowooze ku kyokuteeka ensimbi mu bintu ebigasiza awamu eggwanga nébivaamu omusolo ogumala Uganda etuuke ekiseera ngesobola okweyimirizaawo ngeteyewoze.