Amawulire
Aba DP basabye pulezidenti alowooze nyo ku bannauganda abali obubi
Ng’omukulembeze w’eggwanga YK M7 ateekateeka okwogerako eri eggwanga olunaku lw’enkya, ekibiina kye byobufuzi ki Democratic Party kimusabye ovaayo ne kyokudamu eri embeera eyebbeeyi bannauganda mwebawangalira ensaji zino.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, munnamawulire wa ssenkagale wekibiina kya DP, Fred Mwesigwa agamba nti okwogera kwa pulezidenti kujjidde mu kiseera nga Bannayuganda bangi tebalina essuubi nti wanabaawo okukendeera kwebbeeyi ey’ebintu ebyenkizo, oluvanyuma lwebbeeyi y’amafuta okwongera okulinya nga kino kyongedde okusindiikiriza emiwendo gy’ebintu okulinnya.
Mwesigwa ategeezezza nti okwogera kwa pulezidenti kutekeddwa okugonjoola ekizibu kyenjala Bannayuganda mu bitundu ebimu kwebasanga.
Mungeri yeemu ekibiina kya Democratic Party kisuubira pulezidenti okukola ku nsonga y’obutali butebenkevu mu ggwanga.
Kino kiddiridde abantu abatannategeerekeka okutta akulira enzirukanya y’emirimu mu disitulikiti y’e Bukwo, Charles Ogwang ne ssentebe wa Kamwokya LC111, James Kakooza.