Amawulire

Aba DP bawakanyiza ebigambo bya Museveni kubalumba abasirikale

Aba DP bawakanyiza ebigambo bya Museveni kubalumba abasirikale

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byóbufuzi ekya Democratic Party kiwakanyizza ebyayogerwa omukulembeze w’eggwanga nti abóludda oluvuganya bebamu kubali emabega w’obulumbaganyi obukolebbwa ku bifo byéby’okwerinda.

Kino kiddiridde pulezidenti Museveni okutegeeza gye buvuddeko nti obulumbaganyi ku bifo bya poliisi bukolebwa ab’oludda oluvuganya era nagamba nti omu ku bateeberezebwa okulumba ebifo bino nga mukulembeze wékibiina kya National Unity Platform mu Disitulikiti y’e Wakiso yattibwa mu bulumbaganyi.

Wabula bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti wa Uganda Young Democrats (UYD) Ismael Kirya agambye nti omulimu gw’abooludda oluvuganya kwe kuzzaawo enfuga y’amateeka n’okukakasa enfuga ya demokulasiya kale nga tewali engeri gye bayinza okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo.

Mungeri yeemu avumiridde eky’okuwamba n’okukwata abakulembeze b’Abasiraamu mu ggwanga nga neyakasemba okukwatibwa ye Sheikh Yahaya Mwanje.

Kirya agamba nti singa ebikolwa nga bino bigenda mu maaso kijja kuleeta okusosola mu Basiraamu mu Uganda ku nsonga ezitategeerekeka.