Amawulire

Aba DP beesambye ekiwayi kya Union of the UYD Alumni.

Aba DP beesambye ekiwayi kya Union of the UYD Alumni.

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kirabudde bammemba baakyo obutakolagana n’ekibiina kya Union of the UYD Alumni.

Kino kiddiridde ekibiina kya Union of the UYD Alumni okutegeka omukolo gwa Grand Clarion Call, nga bayita bammemba ba DP okugwetabamu.

Wabula bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekibiina kya bavubuka mu DP, ki Uganda Young Democrats-UYD, Ismael Kirya, ategeezezza nti ebbaluwa eziyita abantu ku mukolo guno kuliko akabonero ka UYD akanjingirire.

Bano era abantu basabibwa okudamu eri “UUA National Convenor Group.” Okuyita mu Lubega Mukaaku; Michael Mabikke ne Dr. Bayiga Lulume.

Kirya agambye nti Mukaaku ne Mabikke si bammemba ba Democratic Party oba UYD so nga Dr. Bayiga mmemba wa DP, naye si mmemba wa UYD ekiraga nti tebalina buyinza kukiikirira kibiina mu ngeri yonna.

Kati Kirya alabudde bannakibiina n’abakwatibwako ensonga okwewala okukolagana nábantu bano nókwewala omukolo ogutegekeddwa.

Annyonnyodde nti ng’obudde bw’okulonda kwa bonna bunaatera okutuuka, bulijjo ebintu ng’ebyo bibaawo olwabantu abeenonyeza ebyabwe ne kigendererwa ekyokutabangula ebibiina byobufuzi.