Amawulire

Aba DP e Mubende bazze ku Mbabazi

Aba DP e Mubende bazze ku Mbabazi

Ali Mivule

June 18th, 2015

No comments

Mbabazi poster

Eby’ekibiina kya NRM e Mubende byongedde okwonooneka abavubuka mu kibiina kino bwebasse omukago n’aba DP okuwagira eyali ssabaminister John Patrick Amama Mbabazi alabise ng’eyavudde mu eyali mukamawe YKM7 n’alangirira okumwesimbako.

Abavubuka bano nti bakooye ettuulawamu emirimu gyabula dda ebiwandiiko byabwe babitambuzza naye mpaawo webayinza kuggya mirimu gyafuuka dda akalimu.

Bakkaanyizza nti beetegefu okwaniriza Mbabazi ssinga anaaba atuuse e Mubende okunoonya obuwagizi, era beetegefu okumuwenjeza obuwagizi okwetoloora district.

Omulungamya w’emirimu gya Democratic Party mu district y’e Mubende Ssalongo Ssendawula Nabuligi Francis ayanirizza bannaNRM bano mumukago gwa DP e Mubende nti ky’ekiseera bawagira omuntu yenna mu kibiina kyabwe ssinga aba alina enkyukakyuka gyayinza okubaleetera okusinga okwesiba ku pulezident M7 afuuse wankindo.