Amawulire

Aba DP sibakupapa kyanja byabuggaga byabwe

Aba DP sibakupapa kyanja byabuggaga byabwe

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byóbufuzi ki Democratic Party kigamba nti sikyakupapa kwanja byábuggaga byakyo okutuusa ngébitongole bya gavumenti byanjiza ebyabwe.

Okusinzira ku tteeka erirungamya abakulembeze erya Leadership Code Act 2002, abakulembeze bonna omuli bannabyabufuzi na bakozi mu yafeesi za gavt balina okwanja ebyobuggaga byabwe eri yaffessi ya kaliisoliiso wa gavt ne kigendererwaekyokulwanyisa obulyake.

Olunaku lweggulo yaffeesi ya kaliisoliiso yatongoza enkola eyokwanja ebyobuggag okuyita ku mukutu gwomutimbagano okutuusa nga 31st March.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire mu ku kitebe kye kibiina mu kampala, Okoler Opio, agambye nti bbo tebalina kizibu naye bakulinda ebitongole bya gavt bisooke byanje ebyobuggag byabwe kuba byebisinga okubamu vulugu wensimbi.