Amawulire
Aba DP ssi bakwetaba mu kwekalakaasa
Bya Prosy Kisakye
Abekibiina kya DP besambye entekateea z’okwekalakaasa, ezalangiriddwa banaabwe bwebavuganya gavumenti aba NUP.
Olunnaku lwe ggulo akulembera ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi yalaze empapula okuli ebyava mu kulonda mu bifo ebiyalonderwamu ebyenjawulo, nagamba nti biraga obuwnaguzi bwe bwabbibwa.
Wano yakowodde bann-Uganda okwekalakaasa mu mirembe mungeri zonna ezisoboka, okulaga obutali bumativu eri gavumenti ya Museveni.
Kyagulanyi yagambye nti yawnagula okulonda kuno ne 54.19%.
Kati bwabadde ayogerko naffe, akulira ekiwayi kyabakyala mu DP Sarah Adongo, agambye nti waddenga tebakiriziganya nebyava mu kulonda tebajja kwetaba mu kwelakaasa.
Ono era agambye nti tebanafuna bubaka butongole, obubategeeza ku ntekateeka eno.