Amawulire
Aba FDC bagala ensimbi zóngerwe mu Byóbulamu
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina Kyé byobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya FDC kisabye gavumenti okwongera kunsimbi zeeteeka mu byobulamu kisobozese okuziba eddibu eririwo.
Bino byogeddwa amyuka omwogezi we kibiina, John Kikonyo nga asinziira mu lukungana lwa bannamawulire olutudde enkya ya leero ku kitebe e Nanjanankumbi mu Kampala.
Ono agambye nti ebyobulamu bye ggwanga biyita mu kusomozebwa kwamaanyi ensangi zino, omuli ebikozesebwa mu malwaliro obutabaayo, omuwendo gwa basawo abakugu okuba omutono songa ne sente ezirina okulabirira emisaala gya basawo zakunonya bunoonya.
Kikonyogo agamba nti kino kivudde ku gavt olwensimbi entono zesindika mu minisitule eye byobulamu nasaba zongerweko okusobozesa emirimu okutambula kulwo kutuusa empeereza ennungi eri bannansi
Bino okubaawo nga enkya ya leero abayizi abasoma obwa doctor bakedde kwekalakaasa nga bawakanya ekyokumala okusoma gavumenti ne lemererwa okubawa emirimu.