Amawulire
Aba IFRC basabye Gavt okwongera kunsimbi zéteeka mu byóbulamu
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyensi yonna omwegatira ebibiina by red cross ki International Federation of Red cross ( IFRC) n’aba Red Crescent societies basabye gavumenti okwongera kunsimbi zeteeka mu byobulamu ne kitundu 1% bwogerageranya nensimbi zeggwanga.
Kino kye kimu ku biteeso mu lipoota y’obutyabaga mu nsi yonna eya 2022 eyafulumiziddwa olunaku eggulo ng’esaba amawanga okuba n’enteekateeka ezitereezeddwa ez’okwetegekera enddwadde enkambwe era nga zirina okubeeramu enkola enkakafu ez’okunyweza obwenkanya, n’obwesige.
Bwabadde ayanjula alipoota eno Laban Musinguzi okuva mu yunivasite y’e Makerere asabye ababaka ba palamenti okwetegereza obwetaavu bw’enkola ey’obwegendereza ey’okugonjoola ebizibu.
Alipoota eno yafulumiziddwa ng’ekwatagana n’ekirwadde kya covid 19 ekyabalukawo mu 2019 ekyayanika amawanga mangi nti gaali tegeetegese kulwanyisa butyabaga okuva ssenyiga omukambwe lwe yakosa ensi yonna mungeri eyewunyisa.
Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna abantu abasoba mu bukadde 6.5 be baafa mu myaka egitaawera 3.