Amawulire

Aba IPOD baakutuula ku lwókutaano begeyemu kunsonga ez’enjawulo

Aba IPOD baakutuula ku lwókutaano begeyemu kunsonga ez’enjawulo

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Juliet Nalwooga,

Olutuula lwómukago ogutaba ebibiina byóbufuzi ebirina abakiise mu palamenti ogwa IPOD, olugenda okubaao ku lunaku olwokutaano olwa ssabiiti eno lwakusimba essira kwébyo ebyabaawo mu kulonda okwakagwa.

Mu kwogerako ne bannamawulire ssentebe womukago guno eranga ye ssabawandiisi we kibiina kya NRM Kasule Lumumba, agambye nti okulonda okuyise okwalimu emivuyo mingi, omuli bannabyabufuzi okwesiiga enziro nokuwa obubaka obutali butuufu ekiraga nti omulimu gukyali munene Uganda okulaga enfuga eya democracia.

Lumumba agamba nti bannamukago bakudamu okukubaganya ebiroozo kutteeka erirungamya kunkungana balabe ekiyinza okukolebwa obutanyigirizibwa.

Ekibiina kya Democratic Party ne JEEMA bitegeezeza nti byakukiika mu lutuula luno

Ate aba FDC bategezeza nga bwebatagenda kwetaba mu lutuula luno nga bawakanya ekya bakuuma ddembe okutulugunya bannauganda awatali ayamba.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya kye kibiina e Nanjanankumbi Ibrahim Ssemujju Nganda, asabye gavt okuwa embalirira ya bannauganda bonna abazze bawambibwa

Omukulembeze weggwanga YK Museveni naye wakwetaba mu lutuula luno olugenda okubeera ku kisaawe e Kololo.