Amawulire

Aba Islamic State bakakasizza bebabwatudde bbomu e Kampala

Aba Islamic State bakakasizza bebabwatudde bbomu e Kampala

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Prosy Kisakye

Abajambula aba Islamic State nate bewaanye nebakakasa nti bebakoze obulumbaganyi bwa bbomu mu Kampala olunnaku lweggulo.

Ba nalukalala 3 bebwatudde nebatta nabantu bablijjo abalala 6, atenga abasoba mu 30 bebalumiziddwa.

Obulumbaganyi obwasoose bwabadde ku kitebbe kya poliisi obulala bwabadde okumpi ne wofiisi ya kalisoliiso ya gavumenti.

Aba Islamic State bayise ku mukutu gwabwe ogwamuwulire, ogwa Amaq News Agency ku zimu ku Telegramzaabwe nebakaka okukola obulumbaganyi buno.

Mu kiwandiiko omukulembeze wegwanga kyafulumizza, akawungeezi akayise agambye nti okusinziira ku mannya abajabula gebabadde beyita kiraga nti bonna bannaYuganda.

Omukulembeze wegwanga alayidde nti baakuwangula obutujju bwomubibuga, nga bwebabawangula mu 2007 eyo mu Semiliki National Park.

Mungeri yeemu, abamu ku babaka ba palamenti banyonyodde embeera gyebayiseemu olunnaku lweggulo, oluvanyuma lwobulumaganyi bwa bbomu 2 ezakubiddwa mu Kampala.

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Nebbi Agnes Acibu, agambye nti babadde mu lutuula olwakakiiko ka palamenti, nebawulira okubwatuka nekireka buli omu mu ntiisa.

Agambye nti awo emirimu gyebabaddeko, gyonna wegyakomye nebatandika okubuna emiwabo.

Omubaka wa Agago North John Okot agambye nti gavumenti esaanye okukimanya nti Uganda erina omulabe wabula atanalabika nokukakasibwa.

Yye omubaka we Buvuma Robert Migadde Ndugwa yegasse ku bakunga abantu okubeera bulindaala, era baloope byona byebekengedde.