Amawulire

Aba makomera babanja

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

prisons parade

Abaaliko abakuumi mu makomera okuva e Kasese beekubidde enduulu nga bagaala kusasulwa olw’okugobwa mu bukyaamu.

Ba ofiisa bano abawerera ddala 40 olwaaleero bategeezezza ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda nti baagobwa wakati w’omwaka 2007 ne 2008 naye nga tebafunye kiwandiiko kyonna.

Bano nga bakulembeddwaamu Hassan Esungwa ne Sunday Muhindo bagamba nti buli Muntu agobwa alina okuweebwa ebbaluwa ekitabangawo.

Bagamba nti ssinga gavumenti tebaako ky’ebakolera, bakuddukira mu kkooti.