Amawulire
Aba Mbabazi balayidde okugenda mu maaso
Abavubuka abawagira eyali ssabaminista Amama Mbabazi balayidde okugenda mu maaso n’entegeka zaabwe ez’emisinde gy’omutolontoko mu Kampala yadde poliisi yaweze okubagaana
Abavubuka bano bategese emisinde gino nga 23 omwezi guno nga bakukungaanya engoye, emmere n’ebirala okuwa abataliiko mwasirizi mu buvanjuba bw’eggwanga
Bano bagamba nti bategeezezzaako dda ssenkaggale wa poliisi
Atwala abavubuka bano Richard Kirekyankuba agamba nti zino zeezimu ku ntegeka zaabwe ez’okutunda Amama Mbabazi agenda okubeera omuddusi omukulu