Amawulire
Aba MUBS beekalakasizza
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi ba Makerere University Business School ababadde beekalakaasa nga bakungubagira bannaabwe abattiddwa motoka eyawabye olunaku lwajjo.
Abayizi bano baabadde ku gaabwe era nga beebamu ku bataano abakoseddwa
Abayizi ababadde batasalikako musale babadde bagaala kusiiga langi mu kifo awabadde akabenje kifuulibwe ekisalibwaamu okukendeeza ku bubenje
Bano era batataaganyizza ebyentambula ng’emotoka ziwaliriziddwa okuyita e Ntinda
Atwala poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka e Nakawa John Turizama agezezzaako okukkakkanya abayizi nga butereere ekiddiridde mukka gubalagala