Amawulire
Aba NAADS beganye okuwa abalimi ebitali ku mutindo
Bya Juliet Nalwoga, Abakungu okuva mu kitongole kya NAADs basambaze ebigambibwa nti bawa abalimi ensigo ne ddagala ebitali ku mutindo.
Bino we bigidde nga ministry ye by’obulimi eri mu lutalo lwa kulwanyisa nsasanya ye bikozesebwa mu by’obulimi ebitali bya mulembe ekiteeka obulamu bwa bannauganda mu matiga.
Emmmanuel Sande omukungu okuva mu NAADS agamba nti ezo engambo ezibungesebwa sintuufu kuba gavumenti ensigo ne ddagala byegabira abalimi ebigula watuufu.
Wabula agamba nti ensigo zino okuka omutindo kiva ku balimi okuzitereka obubi okumala ebbanga eddene mbu nga balize ekiseera ky’okusimba ekituufu
Mu sabiiti ewedde ministry ye by’obulimi n’obulunzi yayimiriza okutundibwa kw’eddagala ly’ebirime ne bisolo oluvanyuma lw’okukizuula nti ebiccupuli byeyongedde nyo.