Amawulire
Aba NDA bakutte omusuubuzi wéddagala mungeri emenya mateeka
Bya Benjamin Jumbe,
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byeddagala mu ggwanga ekya NDA kikutte omusuubuzi w’eddagala mu ngeri emenya amateeka wamu ne banne abalala mukaaga e Nabulagala mu Kasubi.
Omwogezi we Kitongole kino Abiaz Rwamwiri agamba nti bano basangiddwa nga balina eddagala ery’ekyama omuli neddagala lya gavumenti, n’ebiwandiiko ebijingirire ebya NDA, Doola za Amerika ez’ebicupuli n’ebirala.
Agattako nti mu kiseera kino bano bakuumirwa ku poliisi era baakuvunaanibwa mu kkooti z’amateeka.