Amawulire

Aba NEED basabye Gavt okutumbula embeera zábakozi baayo

Aba NEED basabye Gavt okutumbula embeera zábakozi baayo

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2023

No comments

Bya  Prossy Kisakye,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kisabye gavumenti okutumbula embeera z’abakozi baayo naddala ab’ebyokwerinda.

Omulanga guno guddiridde ebigambibwa nti abadde minisita avunaanyizibwa ku bakozi, Charles Engola, yakubwa amasasi agaamuttirawo omukuumi we, olw’omusaala okulwawo okumuweebwa.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za NEED, e Rubaga, ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Asuman Odaka agambye nti ebyenfuna byonna ebikulaakulana birina okukulembeza abakozi.

Annyonnyodde nti abaserikale ba Uganda ab’ebyokwerinda babeera mu mbeera ya nnaku; tebasobola kuliisa maka gaabwe, okuba n’amayumba amalungi nga kw’ogasse n’okulwawo okusasula emisaala ekibanyiiza ekivaamu kwe kumenya amateeka.

Mungeri yeemu Odaka asabye gavumenti ewe enteekateeka z’okubudabuda abajaasi abakomawo okuva mu ddwaniro kuba bayita mu bingi