Amawulire

Aba NEED bawabudde gavt kungereka yébisale byámasomero

Aba NEED bawabudde gavt kungereka yébisale byámasomero

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abavuganya gavumenti okuva mu kibiina ki National Economic Empowerment Dialogue balabudde gavumenti okwewalira ddala okulowooza ku byokulagira amasomero ebisale bye balina okusasuza abayizi.

Kinajjukirwa nti mu kaweefube w’okukoma ku masomero ageefudde amasuubuzi gavumenti yali eteesa nti ebisale byebasasuza abayizi ebiteeko ekkomo, kitaase abazadde abayagga.

Akulira ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue Joseph Kabuleta, abalabude nti kino bakyesonyiwe amaanyi bagateeke ku kyakulaba nga ebikozeebwa mu masomero bikakana ku beeyi, sosi kunyigiriza bannyini masomero