Amawulire

Aba NIRA bagala emitwalo 20 eri ababuliddwako endagamuntu

Aba NIRA bagala emitwalo 20 eri ababuliddwako endagamuntu

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga, ekya NIRA, kirina ekiteeso eky’okwongeza ssente ez’okufunirako endagamuntu empya singa enkadde ekubulako, oba okwagala okukola enkyukakyuka ku biri kundagamuntu.

Kati bagala omuntu asasule emitwalo 200.000 okuva ku 50.000 zebabadde basaba.

Ekiteeso kino kiletebwa minisita w’ensonga z’omunda Maj Gen Kahinda Otafire bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’okwerinda n’ensonga z’omunda muggwanga okwanjula enteekateeka yaako ey’okuwandiisa bannansi abatawandiisibwanga naabo ngéndagamuntu zbwe zakwako.

Minisita ategeezezza ababaka nti gavumenti eteekateeka okukozesa obuwumbi bwa sillingi 600 mu mulimo guno ogusuubirwa okutandika nga mu June w’omwaka ogujja era nga ku zino, bategese ezimu kuzijja kwabo ababulwako endaga muntu zabwe

abagala eza express bakusasulanga emitwalo etaano.

Wabula ssentebe w’akakiiko kano, Rosemary Nyakikongoro agamba nti okwongeza ensimbi eri abagala endaga muntu okutuuka ku 200,000 tekikola makulu.