Amawulire

Aba NRM Baanirizza abaalondeddwa

Ali Mivule

January 9th, 2015

No comments

Lumumba Kadaga 2

Abakulembeze ba NRM abajja ku kakiiko ak’okuntikko mu kibiina basuubizza okuwereeza ekibiina n’omutima gumu

Bano balondeddwa olunaku lwajjo nga kati akakiiko kano kaliko abantu 28

Omu ku balondeddwa Alera Hudah agamba nti ekisinga kwebagenda okussa essira kwekwegatta.

Bbo ababaka ba NRM bagumu nti olukiiko olwalondeddwa lujja kusobola okutwala ekibiina mu maaso.

Twogeddeko n’ababaka okuli Tim Lwanga,Yahya Gudoi ne Victoria Rusoke.

Omukulembeze w’oludda oluvuganya government mu parliament Wafula Oguttu avumiridde engeri ekibiina kya NRM gyekyayisizamu eyali Ssabawandiisi w’ekibiina kino John Patrick Amama Mbabazi olunaku lw’egulo.

olunaku ababaka abatuula ku olukiiko olw’ekibiina kya NRM olwa National Executive Committee baagaanyi okulonda Mbabazi ku lukiiko lwa Central Executive Committee ngabagamba nti ajja kuleeta enjawukano mu kibiina.

Oguttu agambye nti engeri abakulembeze mu nrm gyebayisizamu Mbabazi eraga nti mu kibiina kya NRM temuli nkola ya Democracia.

Oguttu agambye nti kati kino kyekiseera Mbabazi okubulira bana Uganda oba agenda kuvuganya Museveni mu kalulu ka 2016.