Amawulire
Aba NRM basekeredde Muntu
Ekibiina ekiri mu buyinza kikudaalidde omukulembeze w’ekibiina ky FDC Maj Gen Mugisha Muntu.
Olunaku lw’eggulo Muntu yategeezezza ng’ekibiina kya NRM bwekigenda okusaanawo oluvanyuma lwa ttabamiruka waakyo agenda okubeerawo nga 15 omwezi guno.
Omwogezi wa NRM Ofwono Opondo awadde Muntu amagezi okuteeka essira mu kumalawo obutakaanya obuli mu kibiina kya FDC okusinga okudda kubitamukwatako.
Ofono agambye nti Muntu yandiba nga yabadde talina byakwogera
Ng’aggulawo ttabiruka wa FDC Muntu yagambye nti ekibiina kya NRM kirimu enkayaana era kisemberedde okuyulika era n’asaba abavuganya okwetegeka okutwaala obuyinza