Amawulire

Aba NRM basisinkanye

Ali Mivule

March 10th, 2014

No comments

M7 fresh

Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM bakusisisnkana olw’eggulo lwaleero okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ekibiina.

Okusinziira ku amyuka nampala w’ekibiina kino , David Bahati  ensisinkano eno yakulondoola ebyo ebyatesebwaako mu nsisinkano eyaliwo wiiki ewedde .

Bahati  agamba kuluno bagenda kusinga kuteesa ku kulonda kwa bonna okwa 2016.

Wabula agamba nti endoolito mu kibina kyaabwe teziri kwebyo ebigenda okutesebwako.

Wiiki ewedde ssabaminista  w’eggwanga Amama Mbabazi  yali mu butala oluvanyuma lw’ebyafuluma nga obuyinza bwe nga ssabawandiisi w’ekibiina bwebwali bukendezeddwako saako n’ebigambibwa nti nti azze akola kakuyege w’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu bubba.

Mbabazi  bino byonna abyegaana.