Amawulire
Aba NRM batabukidde Mwesigye
Abamu ku bawagizi ba NRM e Kabale batandise kawefube w’okugoba akulira ekibiina kyaabwe mu disitulikiti eno Hope Mwesigye nga bamulanga kuva ku mugendo.
Bano bagamba nti Mwesigye buli ekisalibwaawo ekibiina ekiwakanya omuli n’eky’okusimbawo pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa mu kibiina.
Nga bakulembeddwaamu atwaala obukiikaddyo bwe Kabale, George Nsaba, abakulu bano bagamba nti baatandise dda kakuyege okulaba nti Mwesigye abaviira
Bano era basonze ku kiwandiiko Mwesigye kyeyassa mu kkooti ng’awagira abo abagamba nti pulezidenti Museveni emyaka gimuwuubidde akatambaala
Wabula bwetutuukiridde Hope Mwesigye agambye nti bino tebimutiisa kubanga omulimu gwe omukulu kulaba nti abantu beegazaanya okwogera byebagaala nga bano kyebali mu kukola.