Amawulire
Aba NSSF batuuyanye
Abakulu okuva mu kitongole ekitereka ensimbi z’abakozi bibakalidde ku matama bwebatuuse okunyonyola engeri muwala wa kaliisoliiso wa gavumenti gyeyafunamu omulimu mu kitongole kino.
Abakulu bano ababadde bakulembeddwaamu abakulira Geraldine Ssali babadde balabiseeko mu kakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nsonga eno oluvanyuma lw’okwemulugunya kw’ababaka.
Mps including Joseph Sewungu, Ann Maria Nankabirwa ne Teopista Nabulya beebemulugunyizza ku ngeri Elizabeth Nabakooza gyeyafunamu omulimu
Akulira NSSF omukyala Ssali agambye nti ebifo bino byalangibwa era Nabakooza n’asaba omulimu ogwamuweebwa kubanga yalina ebiwandiiko
Omukyala ono wabula alemereddwa okuleeta obujuli obulaga nti omuwala ono yayita mu kasengejja
Kati palamenti emutumye okulala lw’abantu 87 abaasaba omulimu guno b’ayogerako nti mwebalonda Nabakooza