Amawulire
Aba NUDIPU basabye Gavt okukola ennongosereza mu mateeka agatyoboola eddembe lyabwe
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira abantu abaliko obulemu mu ggwanga ekya National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) kisabye gavumenti okukola ennongosereza mu mateeka agakwata ku bantu bano agatyoboola eddembe lyabwe.
Bino byogeddwa Esther Kyozira,akulira emirimu mu kibiina kya NUDIPU, bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku lukungana olwennaku 3 olwa , Uganda Grantee Convening olutandise leero nga lwakukomekerezebwa nga May 19th mu Kampala.
Kyozira agambye nti gavumenti erina okuteeka munkola amateeka gensi yonna ku bantu abalina obulemu oba okukola ennongosereza mu mateeka ga wano agalinyirira eddembe lya bantu abaliko obulemu.
Ayokoddeyo etteeka lya Trial on indictment Act ne Magistrates Court Act
Olukungana lugenderedde kulaba nti bateeka munkola ensonga zonna ezikwata kuddembe lyobuntu eri abaliko obulemu nga bwekirambikiddwa mu mateeka gensi yonna.
Olukungana lwakutambulira wansi wómulamwa ogugamba nti okwesigama ku mateeka gensi yonna agakwata kuddembe lyóbuntu okugenda mu maaso.
Mungeri yemu Minisita omubeezi avunanyizibwa kunsonga zábaliko obulemu Hellen Asamo, asabye abantu abaliko obulemu okwetanira entekateeka zá gavumenti ezirubirira okubakulakulanya.
Asamo agambye nti gavumenti mu mwaka gwe byensimbi ogujja yawadde abantu abaliko obulemu obuwumbi bwensimbi za Uganda 100 okuyita mu pulogulamu ya parish development Model
Era ngambye nti waliwo nóbuwumbi bwensimbi 9.6 nga nazo bakuzeyambisa okubaako byebakola basobole okwegobako obwavu
Asamo agambye singa abaliko obulemu beyambisa omuwatwa gavumenti gwe batereddewo bakubeera mu bulamu obweyagaza.