Amawulire
Aba PFT bakufuga emyaka 4 mu Gavt eyékiseera
Bya Prossy Kisakye,
Ekisinde kye byóbufuzi ekya people Front for Transition leero kitongoza bye bagenda okugoberera singa batwala obuyinza okuva eri gavumenti ya NRM eri mu buyinza kati.
Bwabadde ayanja ensonga 12 zebagenda okutandikira nga battue obuyinza ku mukolo ogubadde ku office ze kibiina kye byóbufuzi ekya mu Kampala,Ssabawandiisi wekisinde kino, Mike Mabike, agambye nti ekisinde kya PFT bwekinamala okusigukulula gavt eriko kati bakusooka kutondawo gavumenti eyekiseera gyebayise Transitional Government of National Unity ngéno yakukulembera emyaka 4 nga bwebakola kuntekateeka eyókutegeka akalulu bannansi belondere pulezidenti gwe Bagala.
Mu birala abakulu mu kisinde kino bakukwawula amaggye okuva mu byóbufuzi, okuteekawo enkolagana wakati wamaggye nomuntu walijjo, okutondawo ssemateeka omugya, okukola enkyukakyuka mu bitongole bya gavt, okuleeta enkyukyuka mu mateeka ge byettaka ne byobuggag ebyensibo, okulaba nti tewali munnauganda asigalira emabega ne birala.
Mu kwogerera mu kutongoza ebirubirirwa bino ssentebe wekisinde kya PFT, Dr Kizza Besigye akinoganyiza nti essira bakuliteeka nyo kukyokulaba nti buli munnauganda ali mumbeera nnungi.
Bano bagenda kutandika okutalaga eggwanga nga bayigiriza bannansi ku lugendo lwenkyukakyuka.
Mungeri yemu Besigye asabye bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya okwewala enjawukana nokukayanira obuyinza wabula babeere kitole basobole okuwangula.