Amawulire
Aba poliisi bakyalidde munnamawulire
Abakulembeze ba poliisi bakyaliddeko munnamawulire wa WBS eyakubiddwa Andrew Lwanga.
Lwanga yakubiddwa akulira poliisi ya kampala mukadde Joram Mwesigye bweyabadde akola egyabulijjo egy’okuwereeza abantu.
Abapoliisi abakyaalidde Lwanga bakulembeddwaamu omwogezi wa poliisi Fred Enanga ne banne okuli akola ku mbeera zaabwe n’omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango.
Embeera ya Lwanga tennatereera ng’akyaali munafu ddala.
Bbo ab’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abantu biwandikidde ssenkaggale wa poliisi Gen kale Kaihura nga bagaala akangavvule musajja we
Akulira ekibiina kya Human Rights Network Muhammad Ndifuna agamba nti kyebagaala kugoba musirikale ono.