Amawulire
Aba PSFU basse omukago okuyamba abavubuka 9,400
Bya Ivan Ssenabulya
Private Sector Foundation Uganda (PSFU) basse omukago nekitongole kya Agricyle Global okuyamba abavubuka abasoba mu 9,400 okulwanyisa ebbula lyemirimu.
Mu ntekateeka eyemyaka 5, abalimi naddala abavubuka baakubayunga ku butale mu mawanga gebweru, okutumbula omutindo nebirala.
Bweyabadde ayogerera ku mukolo kwebatongolezza enkolagana neo, ogwabadde ku kitebbe kya Agricycle Global mu disitulikiti ye Luweero, akulira Agricycle Global Josh Sheffner yagambye nti era bagenda kukola nnyo okulwanyisa okudobuuda emmere nokugyonoona.
Amyuka ssentebbe, owolukiiko olwa booda ku PSFU Victoria Sekitoleko, alaze essuubi nti abavubuka bangi abagenda okuyambibwa okwejja mu bwavu, okuyita mu byobulimi.
Ebibalo okuva mu minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi, biraga nti ebyobulimi biwa abantu 65% emirimu, wabulanga 63% ku bbo bavubuka.
Kyo ekitongole kya UN Food and Agriculture Organization (FAO) kitebereza nti emmere eyononeka, mu mawanga wansi weddungu Sahara mu Africa ebalirirwamu obuwumbi bwa $ 4.