Amawulire

Aba Redcross badukiridde ab’ebundibugyo

Aba Redcross badukiridde ab’ebundibugyo

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole kya Uganda Red Cross society kidukiridde abakosebwa amataba mu bitundu bye Bundibugyo.

Okusinzira ku alipoota eyafulumizibwa abantu enkumi 2 mu 834 bebakosebwa ebitagambika oluvanyuma lwokulumbibwa amataba

Red cross bedukiridde kubadeko abatuuze be Kirumya, Bundinagwara1, Bugando 11 Habendu,Kirumya East ne Central  nga bano bafunye bulangiti, amasuwani, ebikopo, amasefuliya, sabuni ne bintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo

Omwogezi w’ekitongole kino Irene Nakasiita awadde amagezi abatuuze be Bundibugyo okusenguka ebifo ebirabika nti bya bulabe nga bukyali na ddala mu biseera byenkuba