Amawulire

aba Taxi beedimye- abantu batambuzza bigere

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

people board govt cars

Bannakampala amakya galeero bakedde kutambuza bigere oluvanyuma  lw’abamu  ku basaabaza abantu wano mu kampala okuteekawansi ebikola wansi ebikola nga bwebasuubiza.

Akeediimo kano kalese abantu abawerako bakonkomaliridde ku nguudo awatali abatwaalako.

Abagoba b’ebidduka bino nga begatira mu kibiina kyaabwe ekya  National Union of Drivers, Cyclists and Allied ekikulemberwa  Abdul Kitata, bagamba kikyali kituuza okutuusa nga KCCA  ekyuusizza mu ngeri gy’etambuzaamu ebyentambula mu kibuga.

Bano bemulugunya ku ngeri akakiiko ka KCCA aka  TAPSCOM,gyekabayisaamu nga bagamba kaddukanya bubi emirimu era katulugunya badereeva ab’akakiiko kano byebegaana.

Bbo abasinga batambuza bigere okugenda ku mirimu

E Nansana embeera yeemu nga eno taxi ezibadde zitikka bazikubye amayinja nga era teri akkirizibwa kutikka.wabula poliisi erabiddwako nga ewerekera abo abgenda ku mirimu okukola.

Wabula bbo abamu ku badereeva baweve nga bwebagenda okusaabaza abantu kubanga tebalama makulu gali mu kediimo kano.

Yye ssentebe waba dereva ba taxi ne bakondakita Mustafa Mayambala agamba teri kupondooka bakugenda maaso n’akediimo kaabwe.

Wabula yyo poliisi erabudde abo bonna abaagala okugootaanya ebyantambula nga balumba abatikka abantu.

Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano  Andrew Felix Kawesi, agamba bakanudde eriiso eri oyo yenna ayagala okugootaanya eby’entambula mu kibuga.

Agumizza abagenda okusaabaza abantu nga bwebagenda okubawa obukuumi.