Amawulire
Aba taxi beekalakaasa
Abasaabaze bangi bakonkomalidde ku paaka enkadde oluvanyuma lw’abagoba ba taxi okwediima.
Aba taxi bano bawakanya eky’okusengula siteegi za taxi eziwerera ddala 7 okuzitwaala mu paaka ya USAFI.
Kino kiddiridde okufuna ebbaluwa okuva eri ekitongole kya Kampala capital city authority nga siteegi ezimu bwezigenda okusengulwa okusobola okukendeeza ku mugotteko mu paaka eno.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta badereeva nebakondakita Musatafa Mayambala agamba ku ezimu ku siteegi ez’okukosebwa kuliko eye Busabaala, Makindye, Kajjansi, Namasuba n’endala
Bbo ba dereeva bagamba nti USAFI tekola ate nga baba bavuganya n’ababodaboda abatwaala abasabaaze ku ssente zeezimu ng’ezaabwe.