Amawulire

Aba UN basanyukidde UCC

Aba UN basanyukidde UCC

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko ke kibiina kya mawanga amagate ekikola ku babundabunda kaniriza enteekateeka yekitongole ekikola ku bye mpuliziganya mu ggwanga ki UCC kukuwandiisa enumber zamasimu ga babundabunda

Bino byogedwa Joel Boutroue akulira akakiiko ka UN akalwanirira eddembe lya babundabunda

Ngennaku zomwezi 13th omwezi guno akakiiko ka UCC kawandikira emikutu gye bye mpuliziganya kunsonga yokuwandiisa enumber za babundabunda nangeri ki gye kirina okukolebwamu.

Kati abanonyi bobubudamo bakkirizibwa okuwandiisa enumber zaabwe ezesimu kasita baba ne bbaluwa okuva mu office ya ssabamin. Ekola nga endaga muntu yaabwe.

Boutroue agamba nti enkola eno egenda kwanguyiliza abanonyi bobubudamo okufuna kaadi zesimu basobole okwogerezeganya nabenganda zaabwe