Amawulire

Aba United Forces of Change bategese okusaba okumalako omwaka

Aba United Forces of Change bategese okusaba okumalako omwaka

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ab’oludda oluvuganya gavumenti abalwanirira enkyukyuka mu byobukulembeze mu ggwanga lino, aba United Forces of Change, bategese okusaba kw’eggwanga okumalako omwaka nga banoonya okulungamizibwa okuva eri katonda mu mwaka omujja 2023.

Okusaba okutegekeddwa abakulembeze mu kibiina ekiri ludda oluvuganya gavumenti aba Forum for Democratic Change ne Ssentebe w’ekisinde kya People’s Front for Transition kutandika nkya ya leero ku ssaawa satu ez’oku makya ku Sharing Hall e Nsambya.

Okusaba kuno kugidde wakati mu kusoomoozebwa okuwerako eri abali ku ludda oluvuganya

Bulijjo ab’oludda oluvuganya gavumenti bazze beemulugunya ku ngeri gavumenti eri mu buyinza gye bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, omuli okuwamba bannabwe, okubakwata n’okubasiba wamu n’abawagizi baabwe, okubagyako eddembe ly’okwogera  n’okukung’aanya n’ebirala.

Besigye agamba nti omwaka 2022 gubadde mukalu eri ab’oludda oluvuganya nga bakubiriza Bannayuganda okubeegattako mu kusaba kwa leero nga basuubira omwaka 2023 omulungi.