Amawulire
aba UNRA basenguddwa
Ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga kyegaanye eby’okubanjibwa obukadde obusoba mu 600 ez’obupangisa.
Ofiisi z’ekitongole kino ku luguudo lw’omukaaga mu industrial area zikedde kugalwa bawanyondo ba kkooti ku bigambibwa nti ekitongole kino kimaze ebbanga nga tekisasula za bupangisa.
Bawanyondo ba kooti okuva mu kampuni ya Trust general auctioneers and court bailiffs bebazinzeeko ofiisi zino nga teri abadde akkirizibwa kuyingira nakufuluma okumala akaseera.
Wabula ye omwogezi w’ekitongole kino Dan Alinange ategezezza nga bwebatasobola kusasula nsimbi za bupangisa ku bizimbe bya gavumenti nga era abakoze kino baagala kubba ttaka.