Amawulire

Aba UPC balabudde gavt okutwala okulabula kw’ebikolwa byóbutujju ngékikulu

Aba UPC balabudde gavt okutwala okulabula kw’ebikolwa byóbutujju ngékikulu

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Uganda People’s Congress-UPC kisabye gavumenti okutwala okulabula kw’obutujju okuva mumawanga agébweru

ngékikulu esobole okunyweza eby’okwerinda.

Kino kiddiridde ku wiikendi ewedde, eggwanga okuddamu okufuna okutiisibwatiisibwa kwe bikolwa ebyóbutujju, bbomu bwezategebwa mu bitundu by’ekibuga Kampala okuli Kabalagala ne Nansana.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ebibiina mu Kampala, omwogezi wa UPC, Sharon Oyat ategeezezza nti kino kyetaagisa okubeera obulindaala, nokwegendereza enyo.

Bino okubaawo nga tewanayita bbanga ddene, Gavumenti ya Amerika ne Bungereza okulabula bannansi babwe abali mu ggwanga lino okuba obulindaala ku bikolwa ebyobutujju era balabulwa obutagezaako kwetaba mu nkungaana ezirimu abantu abangi oba ebifo ebyomugoteko.

Oyat agamba nti singa gavumenti erowoozza ku kulabula kuno nga bukyali ebintu ng’ebyo tebyandibaddewo.

Agasseeko nti wadde poliisi yategeezezza nti tewali muntu yenna yafudde wadde okulumizibwa, ebyokwerinda byetaaga okunywezebwa okusobola okukuuma Bannayuganda obutafiira mu bulumbaganyi nga buno nga bubadewo.