Amawulire
Aba UPC basabye Gavt okutereeza engereka yémisaala gyábasomesa
Bya Prossy Kisakye,
Nga Uganda olwaleero yeegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’abasomesa mu nsi yonna, gavumenti esabiddwa okulongoosa ensengeka y’emisaala gy’abasomesa mu ggwanga.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino mu Kampala, pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People’s Congress, Jimmy Akena, alaze obwetaavu bwa gavumenti okutumbula embeera z’abasomesa nayo okukwataganya emisaala gy’abasomesa ba ssaayansi n’aba arts
agambye nti enjawulo mu nsengeka y’emisaala emalamu abasomesa amaanyi okukola emirimu gyabwe mu bujjuvu ekivaako empeereza ey’omutindo omubi ekikosa ebiseera by’omuyizi eby’omu maaso.
Mungeri y’emu Akena asabye gavumenti okuyigira ku kirwadde kya covid-19 ekyavaako amasomero okuggalwa eteeke ssente ennyingi mu tekinologiya w’amasomero okusobola okukwatagana n’ebiseera ebiriwo singa ensi eddamu okulumbibwa eddwandde enkambwe.