Amawulire
Aba UWA basobeddwa
BYA MICHAEL OJOK
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority kikyalemerdwa okuzza enjovu mu Murchison Falls National Game Park nga kati zitaayaaya n’ezisaanyaawo ebirime bya bantu mu disitulikiti y’e Nwoya olw’embeera y’enguudo embi.
Enjovu 45 okuli n’ennyana ssatu mu bbanga lya ssabiiti 2 wiiki bbiri eziyise zilumbye emiruka okuli Lii, Lutuk ne Langele ebisangibwa mugombolola ye Lii mu Disitulikiti y’e Nwoya.
Okusinziira ku Peter Ewalu, maneja wa UWA Karuma Reserve yiika ezisoba mu 500 okusinga ezemmwaanyi, amajaani, ebijanjaalo, n’amatooke n’ebirala ku byalo Ceke ne Pakawera Langele ne Got Lunyang, bisaanyiziddwaawo.
Agamba nti abasirikale abavunanyizibwa ku bisolo okuva e Karuma range post, baba balina okukozesa oluguudo lwa Pajok oluli nga 80km okutuuka mu Lii trading center okuyamba abatuuze.
George Anywar, Omumyuka wa ssentebe w’ekyalo Ceke eyafiirwa yiika zamatooke musanvu olw’enjovu, agamba nti abalimi batuuka nokwekolamu omulimo okusonda sillingi 5000 okugula ebintu ebikola amaloboozi okugoba ebisolo by’omu nsiko
Ono wabula agamba nti okuyingira mu nsonga zaabwe tekiyambye kutaasa nsuku zaabwe okusaanyawo enjovu.