Amawulire
Aba WFP bakakafu nti Uganda esobola okulwanyisa Ebola
Bya Benjamin Jumbe,
Ekitongole kyékibiina kyámawanga amagatte ekivunanyizbwa ku byémmere ki World Food Programme, kikakafu nti uganda erina obusobozi nobumanyirivu okulwanyisa ekirwadde kya Ebola ekiriwo kati.
Eggwanga lino lyakakasa okubalukawo kwekirwadde kye Ebola akawuka akava e South Sudan, nga 20th September.
Ekibiina kino kigamba nti kikolagana ne gavumenti okukola n’okussa mu nkola enteekateeka ey’okulwanyisa Ebola ey’ekiseera ekitono n’ebanga eddene n’okusonda ssente nga bwe kyetaagisa
Gavumenti ya Uganda esabye WFP okuwa obuyambi bw’emmere eri abalwadde ba Ebola, abakozi b’ebyobulamu naabo abali mukwawulibwa Abalwadde abalala bana baawonye ekirwadde kya Ebola era eggulo nebasiibulwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mubende.