Amawulire
Aba WHO bongedde Uganda obuyambi mu kulwanyisa Ebola
Bya Mike Sebalu,
Ekitongole ky’eby’obulamu mu nsi yonna ettabi elya Uganda kitegeezezza nga bwekirina obuyambi bw’ensimbi obulala obukiweereddwa okuva mu bitebe by’amawanga amalala ziyambeko mu lutalo WHO lweliko olw’okuyamba ku Government okulwanyisa ekilwadde ki Ebola.
Ekilwadde kino kyabalukawo mu districy y’e Mubende kati omweezi mulamba emabega wabula ng’okuva olwo kisasanye mu district endala 5 eza Uganda okuli Kasanda, Bunyangabu, Kakumiro ne Kyegegwa.
Ekitebe ky’ekitongole ky’ensi yonna kyeyama okuwa ekya kuno obukadde bwa doola 2 ng’etandikwa era ng’okusinziira ku akulira WHO kuno Dr. Yonas Tegen Woldemarim, ensimbi zino zatuuka era nga ziibadde zikozesebwa mu mu district awali obulwadde.
Ng’ayogera ne Dembe fm Dr. Yonas ategeezezza nga ekitebe kya Norway bwekyabawaddeyo akakadde akalala aka doola kalamba n’emitwalo 80 eza doola okwo nga kwebagasse emitwalo 50 emilala egya doola okuva mu USAID nga zonna zigenda kugenda mu lutalo lwelumu.
Wabula agamba nti ensimbi ezibawebwa, tezisindikibwa eri Government mu mpeke ng’abamu bwebalowooza, wabula zikozesebwa mu kugula ebyetaago n’okusasulira ensako z’abo abali mu lutalo wekibeera kyetaagisizza ne mu bintu ebilala.
Ono awadde eky’okulabirako eky’ebyuma ebyaguliddwa nebisindikibwa mu bitundu by’e Mubende okuyambako mu kwekebejja n’okuzuula abo abayinza okubeera n’obubonero bw’ Ebola n’ebintu ebilala.