Amawulire
Abaana 2 bafiiridde mu Muliro e Bukomansimbi
Bya Malik Fahad,
Poliisi e bukomansimbi etandise okunoonyereza ku nfa y’abaana babiri abasirikidde mu nnabambula w’omuliro mu nnyumba.
Bino bigudde mu katawuni ke Butenga mu disitulikiti y’e Bukomansimbi omuliro bwe gwakutte ennyumba ne gutta abaana babiri n’okusaanyaawo ebintu.
abagenzi bategerekese nga Phiona ow’emyaka 3 n’omulenzi omulala ow’emyezi 4.
Okusinziira ku batuuze maama w’abaana bano nga mutembeyi yalese abasidde munjumba okugenda okukola ensimbi ku mabbali womuluguundo mu budde obwakawungenzi.
omu ku baliraanwa agamba nti maama abadde alina omuzze ogwokusibira abaana mu nju nagenda okukola era nga baali bamulabudda ku kabi akakirimu.
Akola nga omwogezi wa poliisi mu bitundu by’obugwanjuba Twaha Kasirye agamba nti poliisi etutte emirambo mu ddwaliro okwekebejjebwa nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okuyigga maama ono okuyambako poliisi mu kunoonyereza ku muliro ogwakutte ennyumba.