Amawulire

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte enju e Namayingo

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte enju e Namayingo

Ivan Ssenabulya

December 4th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abaana babiri bakakasiddwa nga bafiiridde mu muliro ogwakutte enju ku kyalo Nalujo mu gombolola y’e Buswale mu disitulikiti yé Namayingo.

Amumyuka omubaka wa gavumenti mu disitulikiti eno, Solomon Baleke agamba nti abagenzi baana ba Ivan Bwire.

Ku bafudde kubadeko omwana owemyaka 3 ne taano.

Okunzira ku Baleke omuliro wegwakwatidde nga abazadde bombi bali mukiyungu bafumba.

Kigambibwa nti omuliro guno gwandiba gwa gwavudde ku waya za sola okukwata omuliro ogwakutte enyumba

Wabula Baleke agamba nti poliisi etandise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko omuliro guno