Amawulire
Abaana 5000 bebagenda okwetaba mu Kisaakaate kya Maama Nnabagereka
Bya Prossy Kisakye,
Abaana abasoba mu 5000 bebetabye mu Kisaakaate kya Maama Nnabagereka ekyomwaka guno ekitandise olunaku lwa leero kikomekerezebwe nga 21st omwezi guno.
Ekisaakaate kyomulundi guno kitwaliddwa kusomero lya MUZZA High School e Mukono mu ssaza lya ssabasajja erye Kyaggwe.
Kyakutambulira wansi womulamwa ogugamba nti okuzuula obusobozi obuli munda kulwokukulanya omuntu.
Bwabadde asimbula abasaakaate e Bulange e Mengo, akulira ekibiina kya maama Nnabagereka Development Foundation, Andrew Mukiibi agambye nti ku mulundi guno essira ligenda kuteekebwa ku kukuyigiriza abaana akóbuntu, okubadabiriza mu ndowooza, nokubayigiriza enkozesa yomutimbagano baleme kwononeka.
Bbo abazadde abawadeyo abaana basiimye maama Nanabagereka olwokubateerawo ekisaakaate kino nga bagamba nti kikoze kinne mu kulambika obulamu bwa baana babwe