Amawulire
Abaana abakooneddwa emmotoka y’empaka batemeddwaako amagulu
Abaana abana abaakoneddwa emmotoka z’empaka olunaku lwajjo batemeddwaako amagulu.
Herman Kasamba ow’emyaka 14, Badri Mawejje 13 Hanifa Nantale ne Rose Naknwagi bakyassiza ku byuuma
Abaana bano bamukyala Hadijah Nalwadda ng’ono era yafiiriddwa omwana ow’emyaka ena mu kabenje keekamu
Akabenje kano kaagudde zirobwe emmotoka y’empaka bweyalemeredde omugoba waayo n’eyingirira abaana bano
Omukyala ono agamba nti tannafuna buyambi bwonna yadde okuva mu bategese empaka zino.