Amawulire
Abaana abaliko obulemu bafunye ababadduukilira
Bya Mike Sebalu. Ministry yébyenjigiriza némizannyo’ngékolaganira wamu nékitongole ki Kampala Capital City Authority, baliko omukago gwebasse nébitongole binakyewa 14 okusobola okutuusa obuweereza mu byénjigiriza eri abaana abaliko obulemu okwetoloola amasomero gábaana ekika kino mu bitundu ebya Kampala.
Amasomero agagenda okuganyurwa kwekuli elyábaana abalina ekizibu ky’okuwulira e Lyé Mulago, elyábaana abalina obulemu ku mibiri námalala.
Ngáwaayo obugaali obuyambako abaana abalina obulemu okutambula, ebikozesebwa mu kusoma saako nébiyambako mu kuwulira ku somero lya Mulago School of the Deaf, Naomi Ayot Oyaro nga yakwanaganya omukago gwa bannakyewa ogumanyiddwa nga Local Coalition Uganda Program, ategeezezza nga kyebaliko ku mulundi guno bweri enyongereza ku ebyo byebazze bakolako okuva emabega.
Ono nga yákulira bannakyewa aba CAPAIDS ( soma Kapeyidizi) agamba nti waliwo obwetaavu bungi nnyo obwókuduukilira abaana abalinga bano okusobola nabo okuvuganya obulungi mu byenjigiriza.
Mu nsi yonna, abantu abakola ebitundu 15 ku 100 (kekawumbi kalamba) baliko obulemu obutali bumu, nga kubano, kyenkana obukadde 240 baana.
Okuzinziira ku nteekateeka yábaana abaliko obulemu mu Uganda, abaana abaliko obulemu bakola obukadde 2 némitwalo 2 mu 7,148 nga kubano akakadde kalamba nómusobyo balenzi ate emitwalo 97 nómusobyo bawala.
Idd Mubarak atwala ebyábaana abaliko obulemu mu KCCA agamba nti nga ekibuga balina abaana abaliko obulemu abasukka mu 500 nga 215 obasanga ku somero lya Ntinda School of the deaf, 168 bali ku Mulago School of the deaf ne 152 bali ku Kampala Schoolof the handicapped.
Akulira Mukisa Foundation nga bebakulembeddemu omulimu gwókugabira abaana bano ebikozesebwa Florence Namaganda agamba nti baagadde okulaba ngómuwendo gwábaana abayita ebigezo ku mutednera gwéggwanga gweyongerako nga bafuna ebyo ebikozesebwa.
Okusizniira ku UNEB, abayizi abatuula ebigezo byéggwanga omwaka oguwedde nga baliko obulemu bangi bayitira mu daala lya 4 ku siniya eyókuna.
Ku baanao abalina obuzibu bwókulira 120 abatula ebigezo ebyo, 5 bokka bebayitira mu daala erisooka, 06 baali mu daala lyakubiri ate 18 baali mu daala lya kusatu olwo 74 baali mu daala lyakuna ne 21 tebasobola kuyita.