Amawulire
Abaana abasoba mu 20 e Karamoja babuziddwawo
Bya Simon Peter Emwamu
Abaana abasoba mu 20 mu disitulikiti ye Kapelebyong tebakubikako kimunye oluvanyuma lwobulumbaganyi obwakoleddwa abagambibwa okuba abalwanyi aba Karamajong olunaku lweggulo.
Mu bulumbaganyi buno bannansi balabiddwako nga basibamu ebyanguwa babulira ebitundu byabwe nga batya okuttibwa.
Norah Amachar, owemyaka 65 nga mutuuze we Obulin Okungur atuubulidde nti bazukulube 2 nábaana abalala 2 tebanadamu kulabwako bukya bulumbaganyi bwakoleddwa ku byalo mugombolola ye Acinga, Kapelebyong ne Okoboi.
Abaana bano kuliko Florence Tino 8 ne Sam Okello 10 nga bano basangibwa bali kusomero kusaawa nga 3 obulumbaganyi webwabererawo.
Ono agamba nti abasomesa bwebawulira ku bulumbaganyi basalawo okulagira abayizi okudda ewabwe wabula bazukulube tebatuuka waka.
Sentebe wa disitulikiti eno Francis Akorikin, agamba nti mugombolola ye Amaseniko yokka abaana 20 babuuze.
Asabye abazadde ababuuliddwako abaana babwe okutegeeza ku bebyokwerinda.