Amawulire

Abaana bakubye Kitaabwe emiggo egimusse

Abaana bakubye Kitaabwe emiggo egimusse

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi mu disitulikiti y’e Rubanda eri mu kunoonyereza ku mbeera eyavirideko abatabani babiri okwekobaana ne bakuba kitaabwe eyakomawo awaka ng’atamidde n’afa.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu Kigezi, Elly Maate, omugenzi ye Dick Ahereza ow’emyaka 49 nga mutuuze w’e Rutooga mu town council y’e Rubanda.

Kigambibwa nti batabani be bamukubye okutuuka mu kkoma naddusibwa mu ddwaaliro ly’e Muko erya health center 1V gye yafiiridde olw’ebisago bye yafunye ku mutwe.

Baliraanwa be baategeezezza poliisi nti Ahereza buli lw’atamiira abadde akola embeera eyo butabanguko mu maka ku mukyala n’abaana.

Maate agambye nti okunoonyereza okwasooka kwazudde nti Ahereza mu kuva mu bbaala yasanze famire eno ng’etudde mu ffumbiro, n’alonda embazzi akube omu ku batabani be nabo kwekusalawo okumwambalira.

Kati poliis etandise okuyigga abalenzi bano abadduse.