Amawulire
Abaana bangi tebasoma
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku by’enjigiriza by’abaana ekya UNICEF, eraga nti abaana abasoba mu mitwaalo ataano beebatasoma bulungi nga bwebalina kukola.
Alipoota eno kino ekitadde mbeera abaana mwebali omuli endya embi, ebyobulamu, amazzi, ebyenjigiriza, n’engeri yenyini gyebakuzibwaamu.
Omubaka w’ekibiina kino mu Uganda, Aida Grima aamba nti ekitundu ky’obukiikakkono kyekisinze okukosebwa ng’abaana abaweza ebitundu 62 ku kikumi beeli mu mbeera embi ennyo.
Obuvanjuba bwebuddako ne kuddako obugwanjuba n’amasekkati.
Yye akulira ekitongole ekiteekerateekera eggwanga Joseph Muvawala kino akitadde ku ndya embi.