Amawulire
Abaana bana basirikkidde mu muliro
Poliisi e Nakaseke eri ku muyiggo gw’omusajja akolezezza nyumba n’atta abaana bana.
Omusajja ono kalibutemu alumbye omukyala Juliet Namugerwa n’ekigendererwa ky’okunyagulula kyokka ng’omukyala yemuludde n’adduka.
Omusajja ono olulabye bw’ati n’ayokya enyumba era nga takomye awo n’agoba omukyala okukkakkana ng’amutuusizzaako obulabe n’abaana be abalala basatu
Ayogerera poliisi y’omukitundu kino, Lameck Kigozi agamba nti omusajja ono batandise okumuyigga era nga wakuvunaanibwa misango gya ttemu.
.