Amawulire
Abaana banywedde obutwa
Poliisi ye Namutumba etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abayizi b’essomero lya Namutumba primary school 32 abaawereddwa obutwa.
Aduumira poliisi mu disitulikiti eno Tom Bainomugisha agamba abayizi bano baddusiddwa mu ddwaliro e Iganga oluvanyuma lw’okutandika okulumwa olubuto.
Bainomugisha agamba obutwa bwandiba nga bwateereddwa mu buugi wabula n’asaba abantu okusigala nga bakkakamu nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.
Agamba yayise dda akulira essomero lino n’abafumbi okubayambako mu kunonyereza nga kiyinza okubayamba okukwata abaakoze kino.